Newankubadde Uganda yakkiriza endagaano eyakolebwa amawanga munsi yonna eyitibwa Maputo Protocol okukuuma eddembe lyábakyala, yakkiriza nga yerekereza akawayiro 14(2)C akógera kukusalao okujjamu olubuto singa omukyala abeera akwattiddwa, akabasanyiziddwa, akozeseddwa omuntu amulinako oluganda, akakiddwa omukwaano, oba nga olubuto lusobola okutuusa akabenje kubulamu bwamaama mundowooza oba obulamu okuwaliza awamu (CEHURD, 2016, p.23). Gavumenti ya Uganda ekyakalambidde okuteekawo embeela esobozesa abakyala okufuna obuweereza okusinziira kuddembe elibaweebwa elyo’bwebange okujjamu olubuto. Okukaka olubuto okuvaamu kikkirizibwa mumbeera elagiddwa oba okakasiddwa abasawo abakugu ddala ngakigendereddwa okutaasa obulamu bwómukyala. (HRAPF, 2016). Teri kiragiro kya’ggwanga kikkiriza buweereza buno naye abakwaasisa amateeka beyongera okukozesa Penal CodeAct Cap. 120, omuli akawaayiro akakugira okujjamu olubuto wamu nókutangira omukyala okulujjamu (Mulumba et al,. 2017). Okusiinziira ku mateeka agafuga Uganda bagakola nga gasinziira ku semateeka wégwanga era munkomerero, amateeka ogakwaata kunsonga zebyo’kwegatta zikkilra buweereza nga omukyaala amaze okujjamu olubuto (PAC). Ebitundu munaana kubuli kikumi (8%) kubantu bonna abali mu uganda, bakurisitaayo (okusinziira ku kunonyeereza kwa (Larsson et al., 2015) ate nga enzikiriza naddala eyabakatholiki evumilira nyo ensonga yokujjamu embuto. Mu mwaka gwa 2016, ennongosereza mu tteeka eritaasa okufa mubakyaala abali embuto wamu naabo abafa ngakiva mukujjamu embuto mubukyaamu lyayiimirizibwa nga kiva mukuwakanyizibwa abamu ku bayina obuyinza obusalawo. (Cleeve et al.,2016; HRAPF, 2016; Mulumba et al., 2017). Okukugira kuno kukosa eri abasawo wamu nábakyala kumitendera gyonna, abakabanyisibwa, abatiisibwatiisibwa, abawambibwa, abasingibwa emisango wamu naabo abasibibwa (HRAPF, 2016) Kino kikosa okusalaawo okulungi eri abakyala banji nyo okusalawo okugenda okukozesa enkola ezókujjamu embuto enkyaamu, nga bayambibwa abantu abatalina bumanyirivu, era abakyala banj nyo bali kubuzibu okufuna ebituli kunnabaana zaabwe, okuviibwaamu omusaayi omungi wamu nókufa (Aantijes et al., 2018; Kagaha ne Manderson,. 2020). Mu uganda, kiteeberezebwa nti embuto ataano munya (54) kubuli kikumi zijjibwaamu mubumkyaamu mubakyaala abatuuse okuzaala buli mwaaka (Moore et al., 2014). Okukugira okwamateeka kiremesa bannakweewa mu govumenti nábatali mu gavumenti okuyamba okuteeka obuweereza obusobola okukeendeza kunsonga ezokujjamu embuto mubulungi olwo nekiviirako abakyala banji okusosolebwa nga bandiyagadde okufuna obuweereza buno okujjako abo abeetaze obuweereza obwa okunaazibwa mulubuto nga lumaze okuvaamu kubanga kyo kkikirizibwa mumateeka (Mutua et al., 2018)
Buweereza ki kunsonga yókujjamu embuto obuliwo mu uganda?
Uganda erina obuweerea obwa eddagala eryekikugu wamu nókulongoosa. Enkola ey’okukozesa eddagala (MA) elina okugatta dozi yebika byempeke bbiri, mifepristone wamu ne Misoprotol oba Misoprostol nga akozesebwa yekka. Enkola eyokulongoosa erimu emitendera ebiri, eyokunuuna (MVA) ne yókugaziya nókufulumya ebiri munnabaana (D&E) Okukozesa empeke kisoboka mpaka nga olubuto luwezezza sabbiiti kumi nabbiri. MVA ekozesebwa mpaka nga olubuto lwa sabbiiti kumi na nya. D&E ekozesebwa wakati wa sabbiiti kumi nataano ku abiiri munya.
Nkola ki ezikkilizibwa mukujjamu embuto eziri kukatale?
Misoprostol oba omugatte gwa misoprostol ne mifepristone bisaangibwa mu maduuka agatuunda eddagala mu uganda; naye weetaaga okunyonyolwa engeri gyolina okkozesa eddagala elyo. Emiweendo jikyuuka okusiinzira wa woguze eddagala elyo.
Amaduuka manji akatunda eddagala nga tegakuwa ndagiriro, era tebatera kuwa ndagiriro ku ani ateekwa okukozesa, dozi ki gyolina okkozesa nabutya bwolina okkozesa empeke ezijjamu olubuto.
What do abortion pills look like in Uganda?
Eno yengeli eddagala lya Miso-Kare welifanana:
Eno yengeli eddagala lya Ma-kare welifanana:
Eno yengeli eddagala lya Avertiso welifanana.Ebeeyi elowozebwa: UGX 6,000
Ani gwensobola okutuukirira nga njagadde okumanyisibwa kunsonga zókujjamu olubuto mumateeka mu uganda? Abo abatalina buzibu okwolekebwa mulujjude ku mutimbagano gwaffe beebano wammanga.
Aba Community Helath Rights Network (Coherinet) Aunt KAKI kunsonga ezekikyaala wamu nókumanyisibwa okwekikugu nga oyita kumutu ogutali gwakusasulira nga bakuwa obuweereza nga tebasosola ate nga bakuyamba okulonda empeereza eyo eliwo kubuli mukyaala ali mumyaaka ejizaala kubuli muteendera naddala abakyaala abakosebwa enyo mpaka kwaabo abali wansi kubyaalo.
Enamba ezókkuba nga zabweereere ziri, 0800 24 72 47 (MTN) oba 0800 34 73 47 (Airtel)
Okumanya ebikwata kukuyambibwa nga ovudemu olubuto oba okuyambibwa okujjamu olubutu nga amateeka gakyikiliza, tukilila: Aba Marie Stopes Uganda, kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba Marie Stopes
Aba Reproductive Health Uganda, kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba Reproductive Health mu Uganda
Aba Inclusive Health Bureu (URHB), ekikola kunsonga zókufuna olubuto, okunaazibwa ng’olubuto lumaze okuvaamu, era nga ku beeyi ensaamusaamu ku malwaaliro agayambibwaako aba URHB. Ekotongole kino ekya URHB kyawandiikibwa okusobola okuyamba okutumbula ebyóbulamu ebya bakyaala wamu abavubuka nábaana.
Aba Naguru Teenage Centre, abuweerebwa bulina empeereza zonna mukujjamu olubuto era némpeereza endala ozóbukugu. Empeereza zilimu okujanjabibwa endwadde zékikaba (STI), okukeberebwa wamu nókujanjabibwa, okukebera olubuto, okunywa eddagala mu bakyaala abali embuto, okujanjaba obulumi buva kunsonga zékikyaala, okuwa obuweereza nga oviiribwaamu olubuto, obuweereza kubujimu bwo, endya ennungi wamu nóbuyonjo.
The Association of Obstetricians and Gynecologists of Uganda (AOGU) Advance Reproductive Health services through excellent practice, education, research, collaborations and advocacy.