Ebiragiro n’Obukwakkulizo

Okutwalira awamu

Ng’okozesa empereza, okkiriziganya n’obukwakulizo bwona obw’empereza, era nga tusobola okubukyusa ekiseera kyona. Olina okukebera olupapula luno buli kiseera okumanya enkyuka kyuka gyetuyinza okukola ku bukwakulizo bw’empereza.

Tusigaza olukusa okujjayo oba okukyusa empereza nga tetulina gwetutegezezza. Tetugenda kubeera na buvunanyizibwa eno webusayiti wevaako mu budde bwona oba mu kiseera kyona. Ekiseera kyona, tusobola okuziyiza okutukirira ebitundu ebimu oba webusayiti yonna.

Eno webusayiti eyinza okubeera n’emiwatwa ejjigenda ku webusayiti endala (‘webusayiti eziyungidwako’), ezitadukanyizibwa www.howtouseabortionpill.org. Eno webusayiti terina buyinzaku webusayiti eziyungidwako era terina buvunanyizibwa bwekiriza kulwazo oba kulw’okufirwa oba okwonoona okuyinza okuva mu kuzikozesa. Okukozesa webusayiti eziyungidwako kugenda kubeera wansi wobukwakulizo bw’okukozesa n’empereza eziri mu buli webusayiti sekinoomu.

Eby’obwekusifu

Eby’obwekusifu byaffe, ebiraga engeri gyetugenda okukozesamu ebikukwata ko, bisobola okusangibwa ku www.howtouseabortionpill.org/lg/privacy-policy. Ng’okozesa webusayiti, owaayo olukusa ku nkola enyonyodwa era okkiriza nti byona byowadeyo bituufu.

Ebitakkirizibwa

Tolina kukozesa bubi webusayiti eno. Togenda: kukola oba kuwagira buzzi bwa musango; kufulumwa oba kutekako kawuka, trojan, ensiring’anyi, bomu y’amagezi oba ekintu ekilala kyona ekyettima, ekiyonoona tekinologiya, ekiyonoona obukakafu oba nga kisobya oba nga kyabuwemu mu ngeri yona; kuyingira mu bumenyi bw’amateeka mu mpereza yona; okwonoona ebiriko; ebireta okunyiga eri abantu abala; okuyingirina olukusa olw’omuntu yena omulala; okuwereza ebirango ebitasabidwa oba obubaka bwona obuwagira ekintu, ebitera okuyitibwa ‘spam’; oba okugezaako okukyusa enkola oba enkozesa ya kompyuta oba ebitukidwako okuyitira mu Webusayiti eno.

Okumenya etteeka lino gubera musango era www.howtouseabortionpill.org egenda kuloopa okumenya kweteeka kuno eri abobuyinza abakwasi bamateeka era babategeeze kyoli.

Tetugenda kubeera na buvunanyizibwa ku kufiirwa oba kwonoona okuletebwa okwegaana obulumbaganyi bw’okulumba empeereza, ebiwuka oba ebintu byona ebilala ebisanyawo tekinologiya ebiyinza okukyankalanya kompyuta yo, puloguraamu za kompyuta, obubaka oba ebintu ebilala ebyobwananyini okuva ku nkozesa yo eya webusayiti eno oba okugyayo ebitimbidwako, oba webusayiti eyungidwako.

Ebintu ebyayiyizibwa, sofutiweya n’ebigenderako

Eddembe ly’ebintu ebyayiyizibwa mu sofutiweya n’ebigenderako (nga mwemuli ebifananyi) byosobola okufuna oba okuyitira mu webusayiti bisigala wansi wa www.howtouseabortionpill.org oba abagaba layisinsi era bikumibwa amateeka g’obwananyini n’endagaano okwetoloola ensi. Eddembe lyona weriti likumibwa www.howtouseabortionpill.org n’abagaba layisinsi. Osobola okutereka, okufulumya mu bwino n’okulaga ebigabibwa okubikozesa nga gwe. Tokirizibwa kufulumya, kweyambisa, kugaba oba kudamu kufulumya, mu fomati yona, kintu kyona oba kopi z’obubaka obukugabidwa oba obulabikira ku webusayiti wadde okukozesa obubaka buno obukwatagana ne bizinensi oba ekitongole.

Okwejjako obuvunanyizibwa

Ebintu byona n’obubaka obuweredwa ku webusayiti eno bugendeledwa kusasaanya bubaka okutwalira awamu, okwogerezeganya, n’okusomesa kwokwa. Obubaka obutekedwayo ‘nga webuli’ n’okukozesa oba okwesigama ku bubaka buno okikola ku lulwo.

Tewali ngeri yona www.howtouseabortionpill.org gyegenda kubeera na buvunanyizibwa eri okufiirwa oba kumenya, nga kwotadde ekisago, ekiva ku bubaka obwatekebwayo ku webusayiti oba okwogerezeganya wakati w’abantu abakozesa webusayiti, wadde nga kwebali oba tebaliiko ku mutimbagano.

Okuyunga ku Webusayiti eno

Osobola okweyunga ku lupapula olusokerwako, kasita okikola mu ngeri ennung’amu era eri mu mateeka era notayonoona kitiibwa kyaffe oba kukikozesa bubi, naye tolina kutekawo kigatta mu ngeri y’okulaga enkolagana yona, okukukiriza oba okusemba okuva gyetuli ng’ate tukuliiwo. Tolina kutekawo mukuttu gwona kuva ku webusayiti gyotalinako bwa nannyini. Eno webusayiti terina kutekebwako musango kulwa webusayiti endala, wadde okutondawo omukuttu ku kitundu kyona ekya webusayiti etali yalupapula lutandikibwako. Tusigaza olukusa okujjayo okugatta olukusa nga tetutegezedwa.
Okwegyako obuvunanyizibwa eri obwananyini ku bubonero, ebifananyi by’abantu n’ebibinja eby’okusatu

Okuleka wekilambikidwa abantu bona (nga mwemuli amannya n’ebifananyi byabwe), obubonero bw’ebibinja ebyokusatu n’obubaka, empeereza n’ebifo ebitekedwa ku webusayiti tebikyali mu ngeri yona kitundu, oba mukutu eri www.howtouseabortionpill.org era tolina kwesigama ku kuberawo kwa nkwatagana oba kuberawo kuno. Obubonero oba amannya ogatekedwa ku webusayiti eno galiko ba bannyini. Akabonero oba erinnya lyekintu kitwalibwa ng’ekintu ekinyonyola oba ekyawula ebintu n’empereza era tekitegeeza nti ebintu oba empereza ezo bisembebwa aba oba kitundu ku www.howtouseabortionpill.org.

Ekiruyi

Okiriza okutwala obuvunanyizibwa, okulwanirirra era n’obutateeka kabi ku www.howtouseabortionpill.org , oba abajjikulira, ba ofiisa, abakozi, abebuzibwako, bakituunzi, n’abasemba, okuva eri ebigambibwa, obuvunanyizibwa, obuvvune ne oba ebisale ekibinja ekyokusatu nga (mwemuli, nga tekili ku, bisale by’amateeka byoka) ebiva ku nkozesa ya webusayiti eno oba kuyingilira bukwakulizo bwa mpereza.

Ebyawukana

www.howtouseabortionpill.org egenda kubeera n’olukusa ekiseera kyona era nga terina gwetegezezza kukyusa, kujjawo oba kwawukanya mpereza ne oba olupapula lwona ku webusayiti eno.

Obukyamu

Singa ekitundu kyona eky’obukwakulizo bw’empereza tekilabibwa (nga kwotadde okwawula obuvunanyizibwa bwetulina gyoli) okukkatiriza ekitundu ekilala eky’obukwakulizo bw’empereza tekigenda kufuna buzibu. Obuwayiro bwona obulala busigala n’amaanyi bu bujjuvu. Nga wekisoboka akawayiro kona oba akali wansi wakawayiro oba ekitundu ky’akawayiro kisobola okuterezebwa okutekawo ekitundu ekilala n’ekifuuka nga kituufu, akawayiro kagenda kuvvunulwa nga wekisanidde. Era, okiriza nti akawayiro kagenda kuterezebwa era kavvunulwemu ngeri efanana eyasooka eyakawayiro nga wekikirizibwa mu mateeka.

Okwemulugunya

Tulina enkola eyokukwasaganya okwemulugunya era gyetugenda okukozesa okugezaako okugonjoola enkayana wezibalukawo, tukusaba otutegeeze wobanga olina okwemulugunya kwona oba eby’okwanukula.

Obutalemera ku kintu

Womenya obukwakulizo buno n’etutaberako na kyetukola, neera tugenda kubeera n’obuyinza obwokukozesa eddembe lyaffe n’ebugonjoola mu mbeera yona endala gyomenye obukwakulizo buno.

Endagaano yona

Obukwakulizo bwempereza eziri waggulu bulina endagaano yona eri ebibinja ebisukka era n’ebikulembera enzikiriziganya eziri wakatiiwo ne www.howtouseabortionpill.org . Obutalemerako oba obukwakulizo bwempereza bugenda kukolebwa mu buwandiike era butekebweko omukono akulira www.howtouseabortionpill.org