HowToUseAbortionPill (Ekibiina oba Ffe) kibiina ekitali kya beanakyeewa ekiwa enkola yomutimbagano n’omukutu gwa yintaneeti ne tekinologiya akwatagana nayo okuyunga abantu mu nsi yonna ku mawulire amatuufu era agatuukira ddala ku kuggyamu olubuto mu ngeri etali ya bulabe nga okozesa ’empeke, okubasobozesa okuggyamu olubuto mu ngeri etali ya bulabe ku bukwakkulizo bwabwe (Enkola). Enkola eno ekungaanya ebikwata ku bakikozesa, ebikwata ku bakozesa baayo, omuli abakozi b’Ekitongole, abakola emirimu egy’obwannannyini, n’abasaba emirimu (Abakozesa). Enkola eno ey’Ebyama eraga ebika bya byebikwata kumuntu omukozesaa bye tukung’aanya n’eddembe ly’Abakozesa erikwata ku bakozesa baabwe. Wadde nga tufuba nyo okwekwasaganyiza ebintu bingi eby’Enkola eno, ebintu ebimu biweebwa Abawa Empeereza ez’Ebweru okutumbula obulungi bwayo.
Enkola eno ey’Ebyama yassibwawo okukuuma eby’ekyama by’Abakozesa.
Tulina eddembe okukyusa mu Nkola eno ey’Ebyama mu biseera eby’omu maaso. Tetujja kutegeeza bakozesa nkyukakyuka ntono ezitakosa nnyo byama byabwe – gamba ng’okuwa obukuumi obw’ekyama obulongooseddwa, okutereeza ensobi mu kuwandiika, oba okwongerako amawulire. Ku nkyukakyuka yonna ey’amaanyi, tujja kutegeeza Abakozesa nga tuyita ku email. Awatali ndagiriro ya email entuufu okuva eri Omukozesa, tetusobola kubategeeza ku nkyukakyuka yonna mu Nkola. Enkola eno ey’Ebyama eyinza okulongoosebwa oba okugattibwako ffe nga tuyita mu nkyusa empya oba ebiwandiiko ebirala eby’ekyama ebikwatagana n’enkolagana entongole naffe. Ebirango bino biyinza okuteekebwa mu Nkola eno, okuteekebwa ku mukutu gw’Ekitongole, ne/oba okukuweebwa mungeli endala.
Enkola eno ey’Ebyama tefuga mikutu emilala egiyinza okuyungibwa oba okutuukirirwa okuva ku mukutu guno. Tetuvunaanyizibwa ku biri, ebikozesebwa, enkola, oba enkola z’ekyama eziri ku mikutu oba empeereza ezo eziyungiddwa. Okukung’aanya ebikwata n’okukozesa omukutu gwonna oguyungiddwa ku nsonga eno bifugibwa ekiwandiiko ky’ekitongole ekyo eky’ekyama, sitatimenti, oba enkola. Tukukubiriza okuzisoma.
Amawulire Agakung’anyizibwa Ag’omuntu:
Mu Nkola eno ey’Ebyama, ebikwata ku muntu byonna awamu biyitibwa “PII.” Tukung’aanya PII nnyingi okuva n’ebikwata ku Bakozesa, okusinziira ku Mukozesa n’embeera. N’olwekyo, PII eyinza okuzingiramu:
Okukung’anya Ebikukwatako Ng’omuntu:
Tunoonya okukkiriza nga tetunnasolooza ebikukwatako. Nga bakozesa ’Enkola eno, Abakozesa bakkirizza bino byombi (1) ebiragiro by’Enkola eno ey’Ebyama ebibakwatako ne (2) okukung’aanya, okukozesa, n’okukuuma ebikwata kubantu era Enkola eno ebija mu nkozesa yaabwe eya tekinologiya.
Mu ngeri endala, buli Omukozesa bw’akwatagana n’Enkola eno, esobola okukung’aanya ebimukwatako mu ngeri ey’otoma okuva mu tekinologiya Omukozesa gw’akozesa era ejja kukungaanya ebimukwatako byonna Omukozesa by’awa mu kukozesa enkola eno.
Enkola z’okukung’aanya ebikwata ku muntu:
Tufuba nyo okunoonya enkola ennungi, ez’obukuumi ez’okukung’aanya ebikwata kubantu, era tujja kulongoosamu Enkola eno ey’Ebyama okulaga enkola empya.
Tukozesa ebikwata kubantu bye tukung’aanya ne/oba bye tulina mu ngeri zino wammanga:
Tujja kukola emitendera egy’ensonga era egy’amateeka okwewala okuwalirizibwa okufulumya ebikukwatako nga tuwalilizibwa ekitongole kya gavumenti kyonna oba ebitongole ebilala ebinoonya okugifuna. Naye waliwo embeera nga ebitongole bya gavumenti ne/oba ebitongole ebilala webilina eddembe mu mateeka okuwaliriza ebitongole ng’Ekibiina kyaffe okuwayo ebikwata ku muntu; era, mu mbeera zino, Ekibiina kyaffe kijja kuba kirina okugoberera.
Ku bikwata ku muntu ekungaanyiziddwa ne/oba ebiterekeddwa Abagaba Empeereza ab’alala abeetabye mu Nkola, tetufuga nkozesa yaabwe ne/oba okutereka ebikwata kumuntu byonna ng’eyo.
Nga bwe kinnyonnyoddwa mu kitundu ky’Enkola eno ey’Ebyama ekituumiddwa “EDDEMBE LYO KU BIKUKWATAKO NGO’OMUNTU”, osobola okufuga bye tukola ne bikukwatako yo nga bwe kirambikiddwa mu kitundu ekyo.
Eddembe Lyo Ku Bikukwatako Ngo’omuntu
Eddembe ly’abakozesa ku bibakwatako mulimu:
Okusobola okukozesa eddembe lyonna ku bino, Abakozesa balina okutuwa endagiriro ya email entuufu, ekakasibwa era n’okugoberera ebiragiro ebiragiddwa wansi mu kitundu ky’Enkola eno ey’Ebyama ekituumiddwa “ENGERI Y’OKUTUTUKIRIZA N’OKUSABA, ENDOWOOZA, N’EBIBUUZO”. Singa Omukozesa tatuwa ndagiriro ya email entuufu, ekakasibwa, tetusobola kubatuukirira; era kino kitulemesa (1) okubategeeza ku nkyukakyuka mu nkola eno ne/oba ensonga ezikwata ku bibakwatako (2) naffe okukakasa ebibakwatako tusobole okubakkiriza okukozesa eddembe lyabwe okufuna, okutereeza, okufuga n’okusazaamu ebibakwatako.
Emitendela Yekitongole Nenkola Yokukuma Ebyama Byabana Abatanetuuka
Tetukung’aanya mu bugenderevu ebikwata mu bantu ssekinnoomu abali wansi w’emyaka 13. Okuva bwe kiri nti Enkola yaffe tegendereddwamu baana abatanneetuuka, tetukakasa myaka gya bakozesa nga tukozesa omukutu gwaffe n’empeereza zaffe. Kino kitegeeza nti tuyinza okukung’aanya mu butali bugenderevu era mu butamanya ebikwata ku bantu ebimu eby’omwana omuto akozesa Enkola. Okutuuka ku kigero Abakozesa kye bawa ebikwata ku bantu abali wansi w’emyaka 13, Ekitongole kijja kukwasaganya bino okusinziira ku Nkola eno ey’Ebyama. Singa tukolagana n’omuntu ali wansi w’emyaka 13 mu bumanyirivu, tulagira omuntu oyo nti yeetaaga okukkiriza kw’omuzadde okukolagana n’Enkola.
Okukuuma ebikukwatako, tukola bino wammanga:
Tetulondoola bantu ku mikutu gya yintaneeti egy’abantu ab’alala okusobola okuwa obulango obugendereddwamu. N’olwekyo, tetuddamu ku bubonero bwa Tolondola.
Engeri Gy’otutukirira Nga Olina Okusaba, Okuteesa, N’ebibuuzo:
Okusaba, okuteesa, oba ebibuuzo, tuwandiikire ku info@howtouseabortionpill.org. Tukakasa endagamuntu nga tukozesa email eri ku fayiro nga tetunnaba kwogera ku bikwata kumuntu.
Nga bwe kyayogeddwa waggulu, singa Omukozesa tatuwa ndagiriro ya email entuufu, ekakasibwa nga mu kusooka akolagana naffe era ng’atuwa ebimukwatako, oluvannyuma tetusobola kukakasa ndagamuntu ye; era kino kitulemesa okukkiriza omuntu yenna okukozesa eddembe lyonna erikwata ku bikwata ku muntu bye tulina.
Okuterezamu Okusembayo
Enkola eno ey’Ebyama yatereezebwa nga February 14, 2024. Tujja kulongoosa Enkola eno ey’Ebyama waakiri omulundi gumu buli luvannyuma lwa myezi 12.