Okujamu olubuto obulungi nga tusizira ku sabiiti

Embuto wakati wa sabiti 10-13 zisobola okujibwaamu obulungi nobuweke bwokujamu olubuto. Naye waliwo ebintu ebyenjawulo ebyokusooka okukolako

Pregnancies between 10-13 weeks

Okujamu olubuto obulungi nga tusizira ku sabiiti

Okuggyamu olubuto nempeke nga lukyali luto, emikisa emitono egy’okufuna obuzibu. Obulabe omuli n’okuggyamu olubuto nelutagwamu bweyongera ng’olubuto lweyongera okukula. Okugeza embuto ezitasukka wiiki 9 zirina ebizibu ebitakka wansi wa akatundu kamu kubuli kikumi, ate embuto eziri wakati wa wiiki 10-13 zirina ebizibu ebituuka ku bitundu 3%.

Kiki Ky'onoolaba Nga Oggyamu Olubuto Wakati Wa Wiiki 10-13?

Okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi kijja kuleeta okuvaamu omusaayi. Okuvaamu omusaayi kuno kuyinza okukuzitowa okusinga okugenda mu nsonga za bulijjo era nga kuyinza okuzingiramu okuzimba. Mu kuggyamu olubuto wakati wa wiiki 10-13, kisoboka okulaba ekintu ekiyinza okumanyibwa ng’olubuto, oba ekiyinza okufaanana ng’ebitundu omusaayi. Kino kya bulijjo era tekisaanye kukulabula. Kabonero akalaga nti okuggyamu embuto kugenda mu maaso nga bwe kyali kisuubirwa. Nga bwe kiri ku nsonga ezizitowa, osobola okusuula omusaayi oba ebitundu ebinene mu kaabuyonjo awatali bulabe. Bw’oba obeera mu nsi ng’okuggyamu embuto oba empeke z’okuggyamu embuto zimenya mateeka, kakasa nti ekintu kyonna ekimanyiddwa okisuula n’obwegendereza era mu ngeri ey’amagezi.

Abategesi:

  • Byona ebili ku mutimbagano guno bitegekedwa HowToUseAbortionPill.org okutukiriza ebisanyizo n’amateeka gebitongole bino w’amanga: National Abortion Federation, Ipas, World Health Organization, GKT International, ne Carafem.
  • The National Abortion Federation (NAF) kitongole ekigata abayamba abakyala abagala okujamu embuto mu North America ela ekikulemberamu okuwagila omuntu okwesalilawo kyayagala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’amateeka agafulumizibwa ekitongole ki NAF mu 2020.
  • Ipas ky’ekitongole kyensi yona kyoka ekilwanirira abakyala okujjamu embuto nga tebafunye buzibu ne ngeli z’okwegema okuzaala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’enbela z’ebyokuzala empya okusinzila ku basaawo abakugu ez’afulumizibwa ekitongole ki Ipas mu 2019.
  • The World Health Organization (WHO) kitongole ekyekusifu ekya United Nations ekikwasaganya eby’obulamu munsi yona. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’entekateka ya WHO ekwasaganya ebya’bakyala okujamu embuto ngatebafunye buzibu.
  • DKT International kitongole eky’obwanakyewa ekyatandikibwa mu 1989 okukozesa amanyi g’okusasanya mu bantu amawulire agakwata ku kwegema okuzala, okuziyiza akawuka ka mukenenya, na bakyala okujamu embuto nga tebafunye buzibu munsi ezimu ezisinga obunene.
  • carafem kitongole kya malwaliro agayamba abakyala okujamu embuto no kwegema okuzala mungeli ey’ekikugu era endugamu okubasobozesa okusala ku bana abazalibwa n’okujawo okuzala okumukumu.

Ebyawandikibwako:

HowToUseAbortionPill.org kitongole kyobwa nakyeewa ekyawandikibwa mu U.S
HowToUseAbortionPill.org kitongole kifulumya amawulire agayigiriza gooka era tekirina nkolagana na kitongole kya byabulamu kyona.

Kiwagidwa Women First Digital