Tuwa ebikwata ku mpeke z'okuggyamu embuto ezitali za bulabe

Ki kyetuli

HowToUseAbortionPill kibiina kya yintaneeti ekiddukanyizibwa abantu ssekinnoomu abeewaddeyo nga balowooza nti buli muntu, awatali kufaayo wa gy’abeera, alina okufuna eky’okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe.

about us

Kiki kyetukola

HowToUseAbortionPill ekola okugabana ensonga n’ebikozesebwa ebikwata ku ddagala ly’okuggyamu embuto – kiki ky’olina okulowoozaako nga bukyali, wa w’oyinza okufuna empeke z’okuggyamu embuto ez’omutindo, engeri y’okuzikozesaamu awatali bulabe, kiki ky’osuubira, ne ddi lw’olina okunoonya obuyambi bw’abasawo bwe kiba kyetaagisa. Tuli wano okuwa abantu amawulire ge beetaaga okusobola okutambulira mu ngeri ey’obukuumi ku kuggyamu embuto ku bukwakkulizo bwabwe.

Wa gyetukolera

HowToUseAbortionPill kibiina kya nsi yonna – tuli wano okuwa amawulire n’ebikozesebwa. Mu kiseera kino tulina omukutu gwaffe ogwavvuunulwa mu nnimi 26. Okwetaaga olulimi lw’otolaba? Tutuukirire ku info@howtouseabortionpill.org

Okukkaatiriza:

Tukoze buli kisoboka okukakasa nti amagezi agawereddwa mu mpapula za webusayiti matuufu ddala. Naye, ebirimu biyinza okukyusibwa akaseera n’akaseera era abawandiisi tebayiinza kukkiriza kuvunaanibwa olw’obutereevu bw’okumanya okuwerebwa mu kiseera kyonna.

Ebyawandikibwako

Abategesi:

  • Byona ebili ku mutimbagano guno bitegekedwa HowToUseAbortionPill.org okutukiriza ebisanyizo n’amateeka gebitongole bino w’amanga: National Abortion Federation, Ipas, World Health Organization, GKT International, ne Carafem.
  • The National Abortion Federation (NAF) kitongole ekigata abayamba abakyala abagala okujamu embuto mu North America ela ekikulemberamu okuwagila omuntu okwesalilawo kyayagala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’amateeka agafulumizibwa ekitongole ki NAF mu 2020.
  • Ipas ky’ekitongole kyensi yona kyoka ekilwanirira abakyala okujjamu embuto nga tebafunye buzibu ne ngeli z’okwegema okuzaala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’enbela z’ebyokuzala empya okusinzila ku basaawo abakugu ez’afulumizibwa ekitongole ki Ipas mu 2019.
  • The World Health Organization (WHO) kitongole ekyekusifu ekya United Nations ekikwasaganya eby’obulamu munsi yona. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’entekateka ya WHO ekwasaganya ebya’bakyala okujamu embuto ngatebafunye buzibu.
  • DKT International kitongole eky’obwanakyewa ekyatandikibwa mu 1989 okukozesa amanyi g’okusasanya mu bantu amawulire agakwata ku kwegema okuzala, okuziyiza akawuka ka mukenenya, na bakyala okujamu embuto nga tebafunye buzibu munsi ezimu ezisinga obunene.
  • carafem kitongole kya malwaliro agayamba abakyala okujamu embuto no kwegema okuzala mungeli ey’ekikugu era endugamu okubasobozesa okusala ku bana abazalibwa n’okujawo okuzala okumukumu.