Engeri Y'okwetegekera Okuggyamu Olubuto

Kikulu okutegeezebwa mu bujjuvu era nga weetegese nga tonnaggyamu lubuto. Kakasa nti weetegereza amawulire gonna era olina buli kimu ky’olina nga bukyali omuli n’enteekateeka y’obukuumi. Okubeera nga omanyi bulungi kiyamba nnyo mu kuggyamu embuto mu by’obujjanjabi mu ngeri etali ya bulabe.

1. Embalirizi y’olubuto
2. Eby’okwetegeereza
3. Okubulirira okubuna
4. Okuluka olutegeka olw’obukuumi
Pregnacy calculator

Embalirizi y’olubuto

Otuuse bbanga ki mu lubuto lwo? Okunonyereza kulaga nti eddagala erijjamu olubuto mu ngeri ey’obujjaanjabi likubirizibwa nnyo okukozesebwa nga ssabbiiti 13 tezinnaba kutuuka okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga. Koseza embalirizi y’olubuto okusobola okumanya ebbanga ki lyolina, okuva ku lunaku lwewasemba okugenda mu nsonga.

Ensonga zo ezasembayo wezibeera zatandika ku oba:

19 Sebuttemba 2024

Osobola okukozesa empeke y’okujjamu olubuto

Olubuto olusukka mu wiiki 13?

Enkola ya HowToUseAbortionPill egendereddwamu embuto zokka ezituuka ku wiiki 13. Wabula empeke z’okuggyamu embuto osobola okuzimira oluvannyuma lw’olubuto n’enkola endala.

Okumanya ebisingawo, osobola okutuuka ku mikwano gyaffe ku www.womenonweb.org. Oba genda ku peegi z’amawanga gaffe omanye ebisingawo ku by’obugagga eby’okuggyamu embuto mu nsi yo.

Eby’okwetegeereza

Okuwabulwa okwabyona

iconLya nga tonnaba kukozesa ddagala. Kirungi okubeera n’ekintu mu lubuto ng’oggyamu olubuto nempeke
iconNywa amazzi mangi mu nkola yonna. Okusigala ng’olina amazzi mu mubiri kijja kuyamba ku kukendeza okunyolwa.
iconBwokozesa obuweke bwa misoprostol, beera mu kifo (nga ewaka wo) nga olina obusobozi okufuna obukweefu ate nga osobola okugalamira wansi okumala essaawa ezimu nga omaze okukozesa empeke bwoba nga oyagadde.
iconOkubeera n‟omuntu akuyamako kump awo kiyinza okuyamba nga oyita mu nkola eno
iconOyinza okumira ibuprofen nga tonnaba kukozesa misoprostol okusobola okukendeeza ku bulumi obuva mu lubuto
iconLuka olutegeka olw’obukuumi nga tonnaba kukozesa mpeke zijjamu lubuto bwoba nga wetaagisa okufuna obuyambi bw’obusawo obw’amangu. (Okuyunga ku kitundu)

Okukola Enteekateeka y’Obukuumi

Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna, okuggyamu olubuto n’empeke tekirina bulabe nnyo era ebizibu ebivaamu tebitera kubaawo. Kyokka kirungi n’okwetegekera embeera ey’amangu ey’obujjanjabi bwe kiba kyetaagisa. Lowooza ku bibuuzo byaffe wansi okuyamba okukola enteekateeka yo ey’obukuumi singa oba ogyetaaga.

Ebyawandikibwako:

HowToUseAbortionPill.org kitongole kyobwa nakyeewa ekyawandikibwa mu U.S
HowToUseAbortionPill.org kitongole kifulumya amawulire agayigiriza gooka era tekirina nkolagana na kitongole kya byabulamu kyona.

    Kiwagidwa Women First Digital