Engeri y'okukozesaamu empeke y'okuggyamu embuto

Edagala elijjamu olubuto lya bika bibiri: Mifepristone ne Misoprostol. Okujjamu olubuto nga okozesa obuweke obulungi wetaga okukozesa edaggala elyo lyombi omulundi gumu. Naye, woba tosobola kufuna Mifepristone, Misoprostone yeka asobola okukuyamba okujjamu olubuto era notafuna buzibu.

Londa oba wandiyagadde okuyiga endagiriro y’okujjamu olubuto bulungi nga okozesa Mifepristone ne Misoprostol oba Misoprostol yeka.

Ensonga zo ezasembayo wezibeera zatandika ku oba:
2. Misoprostol Only
How to Use

Nga tonatandiika, soma endagiriro yafe ekwata ku Nga Tonakozesa Buweke. Wekakase

Endagiriro Y’okujjamu Olubuto Nga Okozesa Mifepristone Ne Misoprostol

Okujjamu olubuto nga okozesa Mifepristone ne Misoprostol, wetaga akaweke kamu aka 200mg za Mifepristone n’obuweke wakati w’obuna n’omunana obwa 200mcg za Misoprostol. Wetaga okuba nakaweke akakakanya obulumi nga Ibuprofen okukuyamba kubulumi. Tetukuwa magezi kukozesa Acetaminophen ne Paracetamol kuba tezikola kubulumi nga ojjemu olubuto.

Yino engeri y’okukozesa Mifepristone ne Misoprostol okujjamu olubuto:

Eddala 1:

Mila akaweke kamu aka 200mg za Mifepristone na mazzi

Eddala 2:

Lindako esawa 24-48

Eddala 3:

Teka obuweke 4 obwa Misoprostol (200 buli kamu) wansi w’oluliimi obuleke eyo okumala edakiika 30 bugwelele. Mudakiika ezo 30, toyogela oba okulya, kyoba okola beera mukiifo ekisilifu okwewala okutataganyizibwa. Oluvanyuma lw’edakiika 30, nywa ku mazzi omile bulikimu mukamwa. Kano kasela kalungi okumila akaweke akakakanya obulumi nga Ibuprofen, kuba enjooka zisubilwa okutandiika mangu ddala.

Omusaayi n’enjoka bigenda kutandiika okujja oluvanyuma lw’okukozesa obuweke 4 obwa Misoprostol.

Eddala 4:

Oluvanyuma lw’esaawa 24 nga okozeseza obuweke 4 obwa Misoprostol, bwoba nga omusaayi tegunaba kujja oba tewekakasa nti olubuto luvudemu, teka obuweke 4 obulala obwa Misoprostol wansi w’oluliimi. Bulekeyo okumala edakiika 30 bugwelela. Oluvanyuma lwedakiika 30, nywa amazzi era mila bulikimu ekisigadde kubuweke.

Ebilala Eby'okumanya Nga Okozesa Mifepristone Ne Misoprostol Okujjamu Olubuto

Yiga byosubila nga omaze okukozesa Mifepristone ne Misoprostol wano.

Bwofuna enjooka ez’amanyi, Ibuprofen ddagala dungi okukuyamba ku bulumi. Osobola okugula Ibuprofen owamannyi ga 200mg (nga tosose kugenda wamusawo) mu mawanga agasinga obungi. Mila obuweke 3-4 (obwa 200mg buli kamu) buli luvanyuma lw’esaawa 6-8. Bwoba wetaga ekikakanya ku bulumi okusingawo, osobola okukozesa obuweke 2 obwa Tylenol (325 mg) buli saawa 6-8.

Bwoba olina okwelalikilira ku ngeli y’okujjamu olubuto, nga wetaga obuyambi obusingawo, osobola okwogerako ne mikwano gyaffe ku www.safe2choose.orgwww.womenhelp.org oba www.womenonweb.org.

Oluvanyuma lw’okukozesa obuweke obujjamu olubuto bu Mifepristone ne Misoprostol, tewetaga kugenda w’amusaawo kufuna bujjanjabi obusingawo. Obuweke bunno bukola bulungi ddala era ekitongole ki World Health Organization kiwagila okubukozesa. Wetaga obujjanjabi obusingawo mumbela zino wamanga:

  • Owulila oburwadde oba obulumi tebukendela okumala enaku 2 oba 3. Kino bwekitukawo, funa obujjanjabi muddwaliro mangu ddala.
  • Okyawulila obubonero bw’olubuto oluvanyuma lwa wiiki biri nga okozeseza obuweke bunno.
  • Nga ovaamu omusaayi omukwafu mungi oluvanyuma lwa wiiki 2.

Endagiriro Y'okujjamu Olubuto Nga Okozesa Misoprostol Yeka

Nga tonatandiika, soma endagiriro yafe ekwata ku Nga Tonakozesa Buweke. Wekakase

Bwoba tosobola kufuna Mifepristone, osobola okukozesa Misoprostol yeka okujjamu olubuto.

Okujjamu olubuto nga okozesa Misoprostol yeka, wetaga okumira obuweke kumi nabubiri obwa Misoprostol obwa 200mcg. Era olina okuba na kaweke akaziyiza obulumi nga Ibuprofen okukuyamba okukakanya obulumi. Tetukuwa magezi kukozesa Acetaminophen ne Paracetamol kuba tezikola kubulumi nga ojjemu olubuto.

Yino engeri y’okukozesa Misoprostol yeka okujjamu olubuto:

Eddala 1:

Teka obuweke 4 obwa Misoprostol (200 buli kamu) wansi w’oluliimi obuleke eyo okumala edakiika 30 bugwelele. Mudakiika ezo 30, toyogela oba okulya, kyoba okola beera mukiifo ekisilifu okwewala okutataganyizibwa. Oluvanyuma lw’edakiika 30, nywa ku mazzi omile bulikimu mukamwa. Kano kasela kalungi okumila akaweke akakakanya obulumi nga Ibuprofen, kuba enjooka zisubilwa okutandiika mangu ddala.

Eddala 2:

Linda esaawa 3

Eddala 3:

Teka obuweke obulala buna obwa Misoprostol (200 mcg) wansi w’oluliimi okumala edakiika 30 paka we bugwelela.

Eddala 4:

Linda esaawa endala 3.

Eddala 5:

Teka obuweke buna obulala obwa Misoprostol (200mcg) wansi w’oluliimi okumala edakiika 30 paka we bugwelela.

Olina okutandika okuvamu omusaayi n’okufuna enjooka luvanyuma ly’okukozesa obuweke bunno. Kozesa obuweke 12 bwoona n’ebwotandika okuvaamu omusaayi nga tonabukozesa bwona.

Ebilala Eby’okumanya Nga Okozesa Misoprostol Okujjamu Olubuto

Yiga byosubila nga omaze okukozesa Misoprostol wano.

Bwofuna enjooka ez’amanyi, Ibuprofen ddagala dungi okukuyamba ku bulumi. Osobola okugula Ibuprofen owamannyi ga 200mg (nga tosose kugenda wamusawo) mu mawanga agasinga obungi. Mila obuweke 3-4 (obwa 200mg buli kamu) buli luvanyuma lw’esaawa 6-8. Bwoba wetaga ekikakanya ku bulumi okusingawo, osobola okukozesa obuweke 2 obwa Tylenol (325 mg) buli saawa 6-8.

Bwoba olina okwelalikilira ku ngeli y’okujjamu olubuto, nga wetaga obuyambi obusingawo, osobola okwogerako ne mikwano gyaffe ku www.safe2choose.orgwww.womenhelp.org oba www.womenonweb.org.

Oluvanyuma lw’okukozesa obuweke Misoprostol okujjamu olubuto, tewetaga kugenda w’amusaawo kufuna bujjanjabi busingawo. Obuweke bunno bukola bulungi ddala era ekitongole ki World Health Organization kiwagila okubukozesa. Wetaga obujjanjabi obusingawo mumbela zino wamanga:

  • Owulila oburwadde oba obulumi tebukendela okumala enaku 2 oba 3. Kino bwekitukawo, funa obujjanjabi muddwaliro mangu ddala.
  • Okyawulila obubonero bw’olubuto oluvanyuma lwa wiiki biri nga okozeseza obuweke bunno.
  • Nga ovaamu omusaayi omukwafu mungi oluvanyuma lwa wiiki 2.

Abategesi:

  • Byona ebili ku mutimbagano guno bitegekedwa HowToUseAbortionPill.org okutukiriza ebisanyizo n’amateeka gebitongole bino w’amanga: National Abortion Federation, Ipas, World Health Organization, GKT International, ne Carafem.
  • The National Abortion Federation (NAF) kitongole ekigata abayamba abakyala abagala okujamu embuto mu North America ela ekikulemberamu okuwagila omuntu okwesalilawo kyayagala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’amateeka agafulumizibwa ekitongole ki NAF mu 2020.
  • Ipas ky’ekitongole kyensi yona kyoka ekilwanirira abakyala okujjamu embuto nga tebafunye buzibu ne ngeli z’okwegema okuzaala. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’enbela z’ebyokuzala empya okusinzila ku basaawo abakugu ez’afulumizibwa ekitongole ki Ipas mu 2019.
  • The World Health Organization (WHO) kitongole ekyekusifu ekya United Nations ekikwasaganya eby’obulamu munsi yona. Byona ebili ku HowToUseAbortionPill.org bitukagana n’entekateka ya WHO ekwasaganya ebya’bakyala okujamu embuto ngatebafunye buzibu.
  • DKT International kitongole eky’obwanakyewa ekyatandikibwa mu 1989 okukozesa amanyi g’okusasanya mu bantu amawulire agakwata ku kwegema okuzala, okuziyiza akawuka ka mukenenya, na bakyala okujamu embuto nga tebafunye buzibu munsi ezimu ezisinga obunene.
  • carafem kitongole kya malwaliro agayamba abakyala okujamu embuto no kwegema okuzala mungeli ey’ekikugu era endugamu okubasobozesa okusala ku bana abazalibwa n’okujawo okuzala okumukumu.

Ebyawandikibwako: