Engeri Empeke z’okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi gye zikola
Mifepristone ayimiriza olubuto okugenda mu maaso n’okukula, era ayamba okuggulawo omumwa gwa nnabaana (omulyango oguyingira mu nnabaana). Misoprostol aletera nnabaana okukonziba, okukkakkana ng’olubuto luvuddemu.
Misoprostol bw’amala okuyingizibwa mu mubiri, okunyorwa n’okuvaamu omusaayi bijja kutandika. Kino kitera okutandika mu ssaawa emu oba bbiri okuva ku laundi y’empeke esooka. Okuggyamu olubuto kutera kubaawo mu ssaawa 24 ng’omaze okumira empeke ezisembayo eza misoprostol. Ebiseera ebisinga, kibaawo nga tezinatuka.
Weeraliikirira Oluvannyuma lw’okumira Empeke Z’okuggyamu olubuto?
Wansi waliwo engeri ntono ez’okutegeera oba okuggyamu olubuto kuwedde bulungi
- Oyinza okuzuula ebitundu by’olubuto nga biyise. Kiyinza okufaanana ebitole by’omusaayi ebya langi enzirugavu nga biriko obuwuzi wuzi, oba akasawo akatono akazingibwako oluwuzi olweru olufuukuuse. Okusinziira ku banga ly’olubuto, kiyinza okuba ekitono okusinga kusayizi yenjala zo, oba okutuuka ku sayizi y’engalo yo ensajja.
- Okuvaamu omusaayi mu kiseera ky’okuggyamu olubuto kutera okufaananako n’okugenda mu nsonga, oba kuyinza okusingako.
- Obubonero bwo obw’olubuto bujja kukendela. Ebintu ng’okulumwa amabeere, okuziyira, n’obukoowu birina okutandika okutereera.
Ebyawandikibwako:
- “Induced Abortion.” American College of Obstetrics and Gynecologists.
https://www.acog.org/Patients/FAQs/Induced-Abortion - “Care for Women Choosing Medication Abortion.” The Nurse Practitioner.
https://journals.lww.com/tnpj/Citation/2004/10000/Care_for_Women_Choosing_Medication_Abortion.9.aspx - “Safe abortion: technical and policy guidance for health systems.”The World Health Organization.
https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/?sequence=1