Okwejjamu olubuto gwe mwenyini

Okusoma kuno kwakolebwa kulw’omuntu yenna ayagala okuyiga ebisingawo ku kyokujjamu olubuto, oba okufuna amujjamu olubuto ngali waka. N’obubaka bwogenda okuyiga mu musomo guno, osobola okuyamba okukakasa nti ebyokujjamu olubuto n’amakerenda tekulina buvunne, kusoboka okufunibwa, era kwesigika. Essomo lino lyakolebwa mu kukolagana wakati wa Médecins Sans Frontières ne www.HowToUseAbortionPill.org

Musomo 1. Nina olubuto?

Oyagala okukakasa oba olina olubuto? Laba vidiyo eno ofune byoyina okumanya nti olina olubuto.

Okuba olubuto, Olubuto

Okuba olubuto – lw’ewetegekedde n’elwotegekedde – eno embela y’abulijjo

Munsi yona, abantu munsi bafuna embuto ezisuka 40% nga tebazetegekedde.

Bwoba toyagala kufuna lubuto naye nga osubila okuba olulina, toli weka.

Mu vidiyo eno, tugenda kwogela kungeli y’okwekakasa nti olina olubuto.

Okusoka, kyamakulu okumanya nti olubuto lujja oluvanyuma lw’okwegatta nga amazzi okuva mu bitundu by’omusajja ebyekyama gagenda mu bitundu by’omukyala ebyekyama.

Okwegema kiziyiza okufuna olubuto nga mwegase, naye era osobola okufuna olubuto.

Kyosoka okulabirako nti olabika ofunye olubuto bwebutagenda mu nsonga za kikyala.

Bwoba wegasse no’musajja nomala ebanga nga togenze mu nsonga, kitegeza nti olabika wafunye olubuto.

Byosobola okulabirako nti ofunye olubutoebilala kuliko okusesema, omutwe oguluma, okuwulira obukoowu, n’okuwulira nga amabere gageze era gagonda.

Bwoba olina obubonero obwo wagulu, era nga togenze mu nsonga, bubera bukakafu nti wafunye olubuto.

Bwoba osubira okuba nga wafunye olubuto, wekebera nga okozesa omusulo.

Akakebera olubuto osobola okukagula webatunda eddagala, oba genda to ddwaliro elikuli okumpi.

Tekyetagisa kukebera oba wafunye olubuto nga tonakozesa bukelenda obujjamu olubuto.

Bwoba olina obubonero obulaga olubuto, oba nga wekebedde nga olulina, naye nga toyagala kuberanalwo, osobola okusalawo okulujjamu.

Okujjamu olubuto kisoboka nga okozesa obukelenda oba omusaawo okukulongosa.

Gobelela obutambi bwa vidiyo bunno nga tukulaga amawulire agaliko obujjulizi n’okudamu ebibuzo ebisinga okubuzibwa ku bikwata ku buweke obujjamu olubuto nga telunaweza wiiki 13.

Mu katambi ka vidio akadako, tudamu ekibuzo, *”Olubunto lwange kati lwabanga kki?*”””